Mutuwe abantu baffe balamu oba bafu – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
ABANTU BAFFE MUBATUWE OBA BAFU OBA BALAMU;
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Banange, olwaleero tuvuddeyo tulage obutali bumativu bwaffe mu mirembe mu Kampala nga tulaga obutali bumativu bwaffe kukuwambibwa, okutulugunya wamu n’okuttibwa kw’abantu.
Gen. Museveni alina okuzza abantu baffe, bafu oba balamu. Eddembe lyokwekalakaasa lituweebwa Ssemateeka! Munnayuganda eyenyigira mu kwekalakaasa okw’emirembe talina musango gw’aba azizza.
Ndi musanyufu eri abakulembeze abanneyunzeeko nenkubiriza Bannayuganda n’abakulembeze abalala okukozesa eddembe eribaweebwa Mukama Katonda okuwakanya obubbi bw’obululu, okuttibwa kw’abantu wamu n’okutulugunyizibwa. nga bulijjo batukwatidde ku City Square nebatuta nga tewali musango gwebatuguddeko. Tetujja kulekerawo okutuusa nga Bannayuganda bafunye eddembe lyabwe n’ekitiibwa kyabwe.”
Share.

Leave A Reply