Muganga ffe twamukutte – UPDF

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’Eggye lya UPDF Brig. Gen. Flavia Byekwaso avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa ku Social Media ku Vice Chancellor wa Victoria University Kampala Uganda Dr Lawrence Muganga nti yawambiddwa. Brig. Byekwaso agamba nti ono tanawambibwa wabula yakwatiddwa bitongole byabyakwerinda kubikwatagana nokulwa mu Ggwanga nga ebiwandiiko bye byaggwako wamu n’okwenyigira mukusomola ebyama by’eggwanga wamu n’okulibega. Ategeezezza nti okunoonyereza kutandise.
Akatambi akakwatiddwa ku ssimu kalaga ebyabaddewo ettuntu lyaleero ku Victoria University Vice Chancellor Dr Lawrence Muganga ayambadde essaati enjeru nga ateekebwa mu motoka ekika kya Drone, ono akwatiddwa abebyokwerinda ababadde mu ngoye ezabulijjo.
Share.

1 Comment

Leave A Reply