Mityana SS eggaddwa, Abayizi bekalakaasizza lwa kuliisibwa bijanjaalo na Kawunga ku Pasika .

Essomero lya Mityana SS erisangibwa ku lusozo Namukozi liggaddwa lwa bayizi kwekalakaasa nga bakukkulumira abakulira essomero okubaliisa ebijanjaalo n’akawunga ku lunaku lwa amazuukira ga Yesu Kristu (Pasika)

Police y’e Mityana ewaliriziddwa okukozesa omukka ogubalagala okugumbulula abayizi ababadde beesomye .

Abayizi era beemulugunya olw’obukyafu obufumbekedde mu ssomero .

Bino bitusakiddwa Joseph Balikuddembe e Mityana .

Leave a Reply