Lwaki Sheebah osirika nga bampayira – Andrew Mwenda

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Andrew M. Mwenda avuddeyo ku kya Sheebah okugamba nti waliwo eyali ayagala okumusobyako; “Kyewuunyisa omukyala ow’erinnya engeri gyayinza okuswazibwa n’okulumya mu kifo kyokuwaabira eyakikoze ku Uganda Police Force ate nadda ku Social Media, afunemu ki? Kumusaasira? Lwaki tagenda ku Poliisi ayambibwa oba mu Kkooti? Enkola yonna gyeyandigoberedde yandimuyambye okufuna okusaasirwa wamu n’obwenkanya mu mateeka.
Akatambi bweyakafulumya, waliwo eyagenda ku ‘social media’ nga agamba nti nze nasobya ku Sheeba kyokka nze simuwulirangako era simumanyi namutegedde akatambi ke kafulumye ngera bamaze kugamba nti nze.
Bwenalaba akatambi nendowooza nti muntu wakitiibwa, nenindirira nti bwanalaba ebyokumpayiriza engeri gyebitambudde anavaayo nampolereza nti si kituufu kuba simusisinkanangako naye yasirika.
Sheebah teyaddamu bubaka bwange ku ssimu yadde okukwata essimu yange mbu Management ye yali essoma obubaka obwo.
Kinewuunyisa Sheeba obutafaayo kuvaayo kwogera musajja oyo naleka omuntu omukyamu okunenyezebwa.
Share.

Leave A Reply