Lwaki mukyakuumidde Ababaka mu Kkomera – Hon. Ssemujju

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Forum for Democratic Change – FDC era omubaka wa Kira Municipality, Ibrahim Nganda Ssemujju avuddeyo nalaga obwennyamivu ku ky’Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Allan Ssewanyana (Makindye West) ne Muhammad Ssegiriinya (Kawempe North) okuba nga bakyakuumirwa mu nkomyo.
Ye Omubaka wa Bugiri Municipality, Asuman Basalirwa agamba nti Bannayuganda bangi babadde mu kkomera okumala emyaka 10 nga bamiddwa eddembe lyabwe eryokuwulirwa.
Omumyuuka wa Sipiika Anitah Among agamba nti agenda kulondoola eky’Ababaka bano. Ayongeddeko nti yabuuza Attorney General ekigenda mu maaso nti wabula tanavaayo kwanukula Palamenti.
Share.

Leave A Reply