Lumaama David Luyimbaazi akwatiddwa Poliisi e Rakai

OC Station Mpande ku Poliisi y’e Rakai nga akolera ku biragiro bya Kamuswaga Apollo Sansa Kabumbuli ekutte era n’eggalira omukungu wa Ssasbasajja Kabaka omwami w’e Ssaza ly’e Kabula Lumaama David Luyimbaazi Kiyingi abadde aganze okutuuza abaami b’amagombolola okuli Paul Mwanje n’omumyuuka Willy Kiyaga ab’e Gomolola y’e Byakabanda Mutuba I mu Disitulikiti y’e Rakai.
OC agamba nti akolera ku kiwandiiko ekyamuweereddwa nga kiraga nti teri mikolo gya Buganda gyonna girina kugenda mu maaso mu kitundu ky’e Kooki kuba nabo balina omufuzi ow’ensikirano owaabwe.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply