Kkooti za wano zisaanye okulabira ku z’e Kenya – FDC

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Bannakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) bagamba nti baagala ekitongole ekiramuzi ekya kuno wamu ne kkooti zonna zirabire ku kkooti y’e Kenya bweyasalawo gyebuvuddeko n’erangirira akalulu k’e Kenya okuddibwamu. 

Bagamba nti kkooti za wano nazo bwezibanga zisala emisango gy’okulonda zisaanye okufuna obuvumu n’embavu nti ddala Kituufu okulonda kusaanidde okuddibwamu.

Bino biddiridde kkooti mu ggwanga lya Kenya okusazaamu akalulu k’obwa Pulezidenti akaakubwa gyebuvuddeko era neziragira kaddibwemu oluvannyuma lwa Raila Odinga okwekubira enduulu mu kkooti ng’agamba nti akalulu tekaali ka mazima na bwenkanya.

Aba FDC baasinzidde mu lukungaana lwa bannamawulire olwa buli ssabbiiti lwebatuuza ku kitebe kya FDC e Najjanankumbi,  omumyuka w’omwogezi wa FDC Paul Mwiru n’akulemberamu okwogera bino .

Share.

Leave A Reply