Kkooti y’eggye lya
UPDF etuula e Makindye olunaku olwaleero egaanye okusaba kw’abawagizi b’ekibiina kya
National Unity Platform 31 okwokweyimirirwa ku misango egibavunaanibwa egoykusangibwa n’ebintu by’amaggye. Kkooti etegeezezza nti egaanye okusaba kwabano lwabutaba nabifo byankalakkalira gyebabeera ssaako n’okulemererwa okuleeta ababeyimirira abomuzinzi.
Ab’enganda z’abasibe balabiddwako ng’amaziga gabayitamu olw’ebbanga abantu baabwe lyebamaze mu nkomyo era nebawakanya nnyo okusalawo kwa Kkooti.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.