Kibalama aguddewo offiisi za NUP endala

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Abekiwayi kya National Unity Platform ekikulemberwa Nkonge Kibalama kigamba nti beddizza ekibiina kyabwe era nebayita Pulezidenti wa NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okugenda yegatte ku kibiina ekiwandiisiddwa mu mateeka.
Nkonge agamba nti ekiwayi ky’e Kamwokya tekitambulira ku mateeka. Bano bagamba nti olukiiko lwa Bammemba olwomulundi ogwa 27 lwalonda Bobi Wine ngomuwandiisu avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’Eggwanga. Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya bwabuuziddwa ku nsonga eno ategeezezza nti talina kyajogerako.
Share.

Leave A Reply