Gen. Edward Katumba Wamala; “Mbalamusizzaako Bannayuganda. Nasimattuse, ekyo nkyebaliza Katonda.
Ku makya bwetwabadde tuvuge, nze, muwala wange, omukuumi wange wamu ne Ddereeva wange nga tugenda mu lumbe lw’omukadde anzaalira omukyala, abatamanyangamba nebagazeeko okunzita.
Nawonge, wabula muwala wange omwagalwa Brenda Nantongo Katumba ne Ddereeva wange Kayonda Haruna bafiiriddewo mbulaga. Simanyi kyebananga, tewabaddewo nsonga ebatwaza bulamu bw’abantu abatalina buzibu. Emyoyo gyabwe Mukama agilamuze kisa.
Ebisago byenafunye tebitiisa, banoongosezza olweggulo lwajjo essasi erimu nebaliggyamu. Wabula eddala tebaliggyemu kuba lyayonoonye emisuwa era ninda kuwabulwa kwabasawo bambuulire ekiddako.
Neebaza Omuduumizi w’eggye owokuntikko Gen.
I want to thank my Commander in Chief, Yoweri Kaguta Museveni, olwokusasira. Ensimu ze nazifunye yensonga lwaki ngumye.
Neebaza owa Booda Booda, eyampalirizza okutwalira ku booda okugenda okufuna obujanjabi obusooka. Mu ngeri yemu neebaza ab’eddwaliro lya Malcolm Healthcare Kisaasi olwa byonna byebankoledde okuntaasa okuggwamu omusaayi. Obujanjabi obusookerwako bwanyambye.
Nebaza omukuumi wange Sgt. Khalid Koboyoit olwokunzijja mu kifo awabadde obutemu nga bwawerekereza abatemu amasasi. Ebintu byandibadde bibi nnyo. Neebaza ne Medipal International Hospital olwobujanjabi.”