kadaga akwasiddwa alipoota okuva eri omubazi w’ebitabo

Omubazi omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti, John Muwanga akwasizza Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga lipooti ey’omwaka 2018 omuli ssente z’omuwi w’omusolo ezibulankanyiziddwa Minisitule, ebitongole n’amakampuni ga Gavumenti era neyennyamira olw’ebbanja eddene eribanjibwa Gavumenti.
Yasinzidde mu ofiisi ya Kadaga ku Palamenti n’alaga okutya olw’ebbanja eddene eribanjibwa Gavumenti ya Uganda. Ssente ezaali biriyoni 33.99 mu June wa 2017 zaalinnya okutuuka ku biriyoni 41.5 we lwatuukira nga June 30, 2018. Mu kiseera kino ssente ezibanjibwa Uganda zikola ebitundu 41 ku bungi bwa bajeti ya Yuganda yonna.
Obuzibu obulala buli ku bukwakkulizo obuteekebwa ku ssente ezeewolebwa omuli okubeera nga bamusigansimbi tebaggyibwako musolo ku bintu bye baba bakoze n’obutakkiriza kukozesa mateeka ga Yuganda nga bakola endagaano.
Muwanga yalaze nti wadde Gavumenti yasindika ez’okusasula akasiimo eri abaali abakozi ba Gavumenti, kyokka omwaka oguwedde we gwaggweereddeko ng’ebitongole bya Gavumenti ne Gavumenti z’ebitundu balemeddwa okusasula ssente z’akasiimo ezisukka biriyoni 65.
Ssente ezo zazzibwaayo mu ggwanika lya Gavumenti nga kino kiba kitegeeza nti abalina okuzifuna tebaliiyo oba balina okulindako okuzifuna. Ku ssente eziwolebwa abavubuka mu nkola ya ‘Youth Livelihood Program’ yagambye nti wadde nga Gavumenti yali esuubizza okuteeka obuwumbi 231 mu nkola eno we gwatuukira June w’omwaka oguwedde, kyokka obuwumbi 161 zokka ze zzaateekebwamu .
Kino kyavaako omuwendo gw’abavubuka abaali basuubirwa okuganyulwa okubeera 195,644 mu kifo kya 286,200 abaali basuubirwa.
Abavubuka bangi be bawola ssente tebazizzaayo nga ku buwumbi obusoba mu 38 ezaaweebwa abavubuka wakati wa 2013 n’okutuuka 2015, ssente eziwera ebitundu 26 ku buli 100 zokka ze zaasasulibwa.
Muwanga era yennyamidde olwa Gavumenti okulemwa okubanja obuwumbi obuwera 20 z’ezze ewangula mu misango egy’enjawulo we lwatuukira olwa June 30, 2018. Lipooti era yalaze nti ettaka lya Gavumenti abantu bazze balyesenzaako awatali abakuba ku mukono.
Ettaka ly’ebitongole okuli erya Poliisi, ekitongole ky’amakomera, n’erya Minisitule y’ebyobulimi lye basinze okusengako. Ekirala ekyewuunyisa mu lipooti kwe kuba nga ku bitongole bya Gavumenti ebiwera 27, kuliko ebitongole 17 byokka byebyakola amagoba.
Ekitongole kimu kyokka kye kyasobola okwanjula amagoba ge kyakola eri Gavumenti. Kaweefube w’okutaasa entobazzi akyali nafu, kuba wadde Gavumenti yalagira dda okusazaamu ebyapa ebiri mu ntobazi, kyokka minisitule y’ebyensimbi tennaba kuwaayo ssente kuteekesa kino mu nkola.
Kadaga yasiimye ofiisi y’omubalirizi w’ebitabo bya Gavumenti olw’omulimu gwe bakola. Yalaze okutya olwa Gavumenti obutafaayo ku ttaka lyayo, n’awa eky’okulabirako nti mu 1990 baayisa ekya Gavumenti okufunira ebyapa ku ttaka lyayo lyonna naye tebakifangako

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa

#FreeStyleFriday 🔥🔥🤟 Tukukubira omuziki ggwe nozina 97.3 #RadioSimba Mugiriko Mugiteereddeko Wa ? #SuremanSsegawa Atandise Til 4pm
#suremanssegawa
...

3 0 instagram icon
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE aka Mr. Updates mu ddwaliro lya IHK e Nairobi mu Kenya. Omubaka akubye ku matu era essaawa yonna wakusiibulwa adde okwaboobwe.

NB: Omubaka atukirizza okukozesa ekifaananyi kino.

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine yakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE aka Mr. Updates mu ddwaliro lya IHK e Nairobi mu Kenya. Omubaka akubye ku matu era essaawa yonna wakusiibulwa adde okwaboobwe.

NB: Omubaka atukirizza okukozesa ekifaananyi kino.
...

4 0 instagram icon
Mbu mugule emotoka ezebbeeyi!

Mbu mugule emotoka ezebbeeyi! ...

48 5 instagram icon
Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka  Twegatteko Now 
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa

Live Radio 97:3 #Ekikadde TBT You Request We Play Tukudizayo Ddala Emabega Mumyaka Twegatteko Now
#EkikaddeKyaRadioSimba
#SuremanSsegawa
...

5 0 instagram icon
🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

8 0 instagram icon