Olunaku olwaleero ekizimbi kya Main Building Ivory Tower ekya
Makerere University ekyazzeemu okuzimbibwa olubvannyuma lwokukwata omuliro lwekiggulwawo mu butongole era ne Chancellor omuggya lwagenda okutuuzibwa.
Kigambibwa nti Gavumenti omulimu guno yagutaddemu obuwumbi 21. Kyo ekitundu ekyebweru kyazeemu okuzimbibwa okulabika nga bwekyali, yo munda wakyuusiddwa okutuukana n’omutindo oguliwo kati.
Pulezidenti
Yoweri Kaguta Museveni yasuubirwa okuguulawo ekizimbe kino olwaleero era nga lwagenda n’okutuusa Chancellor omuggya Dr Crispus Kiyonga.
Ekizimbi kino kyazimbibwa wakati wa 1930-1940.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.