FDC ewakanyizza ekya Gavumenti okugula emigabo mu Roko

Omumyuuka w’omwogezi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Harold Kaija avuddeyo nategeeza nga bbo nga aba FDC bwebawakanya ekya Gavumenti okuvaayo netegeeza nti egenda kudduukirira Kkampuni enzimbi eya ROKO Construction ltd. olw’ebizibu byensimbi byetubiddemu ngegulamu emigabo gyabuwumbi 200. Kaija agamba nti ekikolwa kino si kya mwoyo gwa Ggwanga nga Pulezidenti
Yoweri Kaguta Museveni bwazze akikaatirizza nasaba ssente za bannansi ziweebwe ku kitiibwa. Ekiteeso kyokuduukirira Kkampuni ya Roko mu Palamenti kyaleetebwa Omubeezi wa Minisita w’ebyensimbi owaguno naguli , Henry Musaasizi.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply