Ekitongole ekivunaanyizibwa ku byembuuka z’ennyonyi mu Ggwanga ekya
Civil Aviation Authority Uganda kivuddeyo nekitegeeza ngenkya yaleero ku ssaawa kumineemu n’eddakiika 31 ennyonyi ya
RwandAir CRJ 9 nnamba 464 bwewabye neva ku Run way enkya yaleero bwebadde egwa ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga kino kivudde ku mbeera y’obudde embi.
Abasaabaze bonna wamu n’abakola ku nnyonyi eno bavuddemu nga tewali akoseddwa. Enteekateeka z’okuggya ennonyi eno ku ‘Run way’ weyaremedde zigenda mu maaso.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.