Emyaka 3 bukya Omulamuzi Kagezi attibwa tewali yali akwatiddwa

Nga wayise kati emyaka esatu bukya omulamuzi Joan Kagezi attibwa, ekitongole ekiwaabi ky’emisango mu ggwanga (Directorate of Public Prosecution) kigamba nti ne gyebuli kati tewali muntu n’omu yali agombeddwamu bwala ku butemu buno.

Bw’abadde ayogerako mu lukungana lwa Bannamawulire ku Joan Kagezi Memorial Lecture ( okumujjukira) ku Media Center mu Kampala, Ssaabawaabi wa Gavumenti Mike Chibita agambye nti kikwasa ennaku nnyingi okuba nti Kagezi yattibwa mu ngeri y’ekikangabwa bw’etyo kyokka nga ne gyebuli kati tewali ky’amaanyi kyali kikoleddwa ku kuzuula abaamutta.

Wabula ategeezezza nti ekitongole kikolera wamu ne Police okulaba nga abatta Joan bazuulibwa.

Chibita ategeezezza bannamawulire nti abatemu abatta Kagezi baakozesa obukugu obw’ekika ekyawaggulu ekikifudde ekizibu okwanguyirwa okubafuna. So Memorial Lecture ya Kagezi yaakubaayo nkya ku Lwokutaano  ku Hotel Africana.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ab’ebijambiya bazzeemu okutemaatema abantu – Bukomansimbi