COSASE eragidde KCCA okununula ettaka ly’eddwaliro

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Akakiiko ka Palamenti akalondoola emirimu gyebitongole bya Gavument aka COSASE nga kakulemberwa Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform Hon Joel Ssenyonyi kavuddeyo nakalagira ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okunnunula mu bunnambiro ettaka ly’eddwaliro lya KCCA erisangibwa ku Ppoloti 71 ku luguudo Nkrumah mu Kampala nga lino kyazuuliddwa nti lyaweebwa mu mankwetu omugagga w’omu Kampala nazimbawo ekizimbe.
Ababaka bagamba nti bakizudde nti ettaka lino lyaweebwa kkampuni ya Securex nga webagiriweera Kkampuni yali ekyali mu bigambo nga tenatandikibwawo!
Share.

Leave A Reply