Bobi wine afulumizza ekiwandiiko

Bobi Wine Ku mbeera eri e Busaabala.
Mikwano gyange;
Embeera eri ku One Love Beach eyungula ezziga kuba lifuuse ddwaniro. Amakubo gonna agatuuka ku beach gagaddwa era nebategeeza nti show yaffe teriiyo leero. Abawagizi bange babadde beeyiye mu bungi ne babakuba omukka ogubalagala.

N’okutuusa kati tebanatuwa nsonga lwaki bayimirizza show eno kuba byonna ebyansabibwa nabikola. Newuunya omwogezi wa Poliisi Emiliam Kayima okuvaayo nategeeza nti tetwateekayo kusaba kwaffe era nti tetwagoberera byatulagirwa wabula nga n’ebiwandiiko mbirina. Lwaki tayogera kyetutatuukiriza bwekiba nga wekiri.
Lwaki bino baabikoze kiro nga tumaze okulanga wamu n’okuteekamu ssente nnyingi okuteekateeka. Abasirikale batuwoleza kimu nti balina ebiragiro okuva waggulu.
Muyimbi munange bwetulina ekivvulu ku lunaku lwerumu ye ekikye gye kiri tewali akigaanye.
Pulezidenti Museveni yavuddeyo nakola ne vidiyo nga alanga ekivvulu ky’omulala ekiriyo ku lunaku lwerumu nga alinga agamba nti Yuganda yiye yekka. Alinga agamba nti okukkiriza okukola olina kumukomba mu bigere abeere nga yakutegeerera!
Buno bwebubaka bwange;
Nga oyita mu bikolwa bino, oyoleka lwatu kiki ky’oli, okiraze nti oli mutitiizi. Bwoba olowooza nti okulemesa ebivvulu byange onnumya n’abantu abafunamu nga ntegese ebivvulu nga oyagala neme kufuna nsimbi kulabirira Bantu bange, ensi enkulaba.
Ntegese ekivvulu kino buli nga 26 December okumala emyaka 10, naye bwekiba nga kyekimu ku saddaaka zenina okukola olw’okukiririza mu mazima n’eddembe kakibeere. Nyongera okukakasa nti bwoba olowooza nti ojja kukyuusa endowooza yange ng’oyita mukuntiisatiisa n’okutulungunya sigenda kukufukamirira n’olunaku n’olumu.
Nga Katonda ali naffe olunaku olumu naawe ojja kugenda nga abalala abakusooka bwebagenda.
Mwebale nnyo bataayi bwetuli mu lutalo lw’okwebereramu! Amazima mugalaba bulijjo mbagamba nti Poliisi, ekkooti oba Palamenti sibwebigenda okutununula wabula ffe benyini ffe tulina okwebereramu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
SDP officials Want Munyagwa to Resign.