Abasajja 3 bakubiddwa amasasi agabatiddewo bwebadde bawanyisiganya
amasasi n’abakuumi ba Biyinzika Poultry Farm e Mukono. Abasajja 10
ababadde babagalidde n’emmundu emu balumbye farm eno ekiro ekikeeseza
olwaleero ku ssaawa nga munaana ogw’ekiro nga bagezaako okubba enkoko.
Mukuwanyisiganya amasaso 3 ku babbi bano bakubiddwa amasasi
agabatiddewo nga omu kubbo ategeerekese nti ye James Adrey ow’e Ngora
Disitulikiti. Poliisi era ezudde ebisawo by’enkoko nga omuyiggo
gukyagenda mu maaso okunoonya abalala abadduse.
basatu batiddwa mu bubbi e Mukono
Share.