Bamusse nebamubbako emotoka ye e Luweero

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Uganda Police Force mu ttunduttundu ly’e Luweero etandise okunoonyereza ku ngeri ddereeva wa Tipper gyeyatiddwamu ne motoka ye nemubbibwako nga 27.01.2022, Ntanzi David, Ddereeva wa Isuzu Elf tipper nnamba UAT 840C, yava ku siteegi ku ssaawa mwenda ezolweggulo oluvannyuama lwa Mubiru Lawrence 27, nga mutunzi wa musenyu okumukubira essimu namusaba amusange ku kyalo Kibanvu, mu Disitulikiti y’e Luweero, gyebaali balina okima enku.
Oluvannyuma lwokumusisinkana yamukulemberamu nebagenda mu kibira ku kyalo Kibanvu gyebamukubira ku mutwe nebamuttirawo, omulambo gwe nebaguziika mu kibira nebabulawo ne tipper.
Share.

Leave A Reply