balooya bansaba ssente nengaana – Ssebuufu

Muhammad Ssebuufu awerennemba n’omusango gw’obutemu afundikidde okwewozaako kwe ku by’okutta omusuubuzi Betty Donah Katusabe n’alumiriza nti Bannamateeka ab’omusanga mu kkomera e Luzira ne bamupeeka abawe akawumbi ka ssente okumupangira aggyibweko emisango.

Ssebuufu yagambye nti Balooya babiri beefula abamukyalidde mu kkomera nga June 27, 2016 ne bamutegeeza nti bw’abawa akawumbi ka ssente tebagenda kulinnyayo mu kkooti kumuwaako bujulizi kubanga be balina obujulizi obukulu kkooti bwe yeetaaga.

Yalumirizza nti kubano kuliko Looya Annet Kobusingye (yali looya wa Katusabe nga tannattibwa) ne Amon Twesigye nga bwe yagaana okubawa ssente ze baamusalira, kwe kusalawo okujja mu kkooti ne bamuwaako obujulizi obw’obulimba nti yeyatta Katusabe.

Yagambye nti baamutegeeza nti bwaba tasobola kubawa kawumbi kamu omulundi gumu wakiri abawe obukadde 100 buli mwezi okutuusa lwezinaggwaayo n’abigaana.

Kino kyawalirizza omulamuzi wa kkooti Enkulu, Anglin Ssenoga okuyisa ekiragiro eri OC akulira eby’okwerinda mu kkomera lya Upper e Luzira okuleeta olukalala lw’abantu bonna abaakyalirako Ssebuufu mu kkomera okukakasa obanga Kobusingye ne Twesigye baagendako e Luzira.

Ssebuufu yagasseeko okutegeeza kkooti nti bwe yagaana okubawa ssente baamuggulako omusango gw’engassi nti yabakuba ne bamuwawaabira mu kkooti nga kati mu kifo ky’akawumbi akamu ke baali bamusaba baagala abaliyirire obuwumbi 10 era ali mu kkooti awoza musango guno.

Kobusingye bwe yali alumiriza Ssebuufu yategeeza kkooti ye yali looya wa Katusabe era ku lunaku Katusabe lw’awambibwa nga October 21, 2015, yayogerako ne Ssebuufu ku ssimu n’amutegeeza nti Katusabe y’amulina era alina okuleeta ssente z’amubanja obukadde 9 bwe baba baagala amute.

Ssebuufu era yeegaanye nti si ye nnannyini ofiisi eri ku plot 6 ku Lumumba Katusabe mwe yattirwa. Yagambye nti oyo offiisi ya Sam Kiwanuka ng’eyiye eri ku plot 5 ne 7 .

Omulala avunaanibwa ne Ssebuufu, Godfrey Kayiza naye yeewozezzaako nti mu kiseera Katusabe mwe yattibwa yali ku poliisi ya CPS oluvannyuma lw’eyali akulira Flying Squad, Faisal Katende okumukwata nga October 15, 2015 n’amukuumira ku poliisi ng’agamba nti yabba sipeeya w’emmotoka y’omugagga.

Yagambye nti okuva nga October 15, 2015 yali ku poliisi y’e Kasubi gye bamukwatira ne CPS gye baamutwala oluvannyuma kyokka yagenda okulaba nga bamugasse ku fayiro ya Ssebuufu nti yaliko ku batta omugenzi Katusabe.

Bano n’abalala okuli Paul Tasingika, Damaseni Ssentongo, Yoweri Kitayimbwa, Shaban Odutu ne Philip Mirambe bavunaanibwa okutta Katusabe lwa bbanja lya bukadde 9.

Kigambibwa nti baamuwamba okuva mu maka ge e Bwebajja ne bamutwala ku Pine we bamukubira okutuusa bwe baamutta.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Bakiggala balaajanira Gavumenti ku mirimu