Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 248 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Amasomero g’obwannannyini 36 gaggaddwa – Luuka

February 24, 2017 · Mubiru Ali

Amasomero g’obwannannyini agawerera ddala 36 gaggaddwa abakulira ebyenjigiriza mu Disitulikiti y’e Luuka mu buvanjuba bwa Yuganda lwa butaba na bisaanyizo . 

Ekikwekweto ekikuliddwamu akulira ebyenjigiriza mu Disitulikiti eno ng’ali wamu n’omubaka wa Pulezidenti , Nsubuga Beewaayo kigendereddwamu okulaba nga buli ssomero eriri mu kitundu kino lirina ebisaanyizo ebimala era ebituukiridde  okubangula abaana b’eggwanga.

RDC Nsubuga agamba nti nga olusoma lw’omulundi guno terunnatandika, baasisinkana ba nnannyini masomero gano nebabasaba bafube okulaba nga batuukiriza ebyo ebyetaagisa naye bbo olusoma bwelwatandika nebagenda mu maaso n’okuggya ssente ku bazadde ate nga bakimanyi bulungi nti tebannatuukiriza ebyo eby’abalagirwa okukola.