Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 184 listening Simba FM Live
News

State House esabye ensimbi ezenyongereza obuwumbi 20

April 30, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Municipality) avuddeyo nategeeza nti State House Uganda yasabye ensimbi ezenyongereza obuwumbi 18 mu obukadde 500 nga za ‘Classified expenditure’ n’obuwubmbi obulala 2 mu obukadde 700 nga zino zamisaala. Ono agamba nti singa Palamenti enaaba eziyisizza kiba kitegeeza nti State House esaasanya obuwumbi 2 n’obukadde 100 buli lunaku so nga enguudo za Kampala ezadaabirizibwa mu mwaka gw’ebyensimbi gwegumu 2023/24 zaweebwa obukadde 86.