Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Akwatiddwa lwakufera mukazi muyingiza mubwa LDU

Omulamuzi w’eddaala erisooka Patrick Talisuna owa Kkooti ya City Hall evunaanye Bejamin Kiprono 29, lwakufuna ssente mu lukujjukujju okuva ku muntu eyabadde ayagala okweyunga ku ba LDU abali mu kutendekebwa.

Kigambibwa nti ono nga mukuumi wa Kkampuni emu ey’obwannanyini nga mutuuze w’e Kamwokya yaggya ssente emitwalo 25 okuva ku Winnie Namataka nga omusuubizza okumuyunga kubwa LDU nga ayita mu bantu abamaanyi bamanyi mu maggye.

Wabula Kiprono yalemererwa okutuukiriza kyeyali yeyamye era bwatyo Namataka nateekayo omusango era Kiprono nakwatibwa.

Wabula oluvannyuma lw’okuwa ensonga ez’enjawulo ono yaweteereddwa ku kakalu ka kkooti ka kakadde kamu akatali kabuliwo nga era wakudda mu kkooti nga 3 – Nov – 2018.

 

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort