akulira eddwaliro ly’e Kindaalo akubiddwa amasasi

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Avunaanyizibwa ku by’obulamu ku Kindaalo Health Centre IV mu Disitulikiti y’e Mayuge Gwaluka Ibrahim yakubiddwa amasasi agamutiddewo ku ssaawa nga bbiri ez’ekiro bweyabadde ayingira mu makaage e Bulubandi mu Iganga. Ono yabadde ne Mukyala we mu motoka yemu wabula nga ye yasimattuse. Abamukubye amasasi baabadde batambulira ku piki piki.
Gwaluka era abadde akola nga omuwanika wa Uganda Medical Association Busoga Branch so nga mukyala we ye akola mu kitongole ekiramuzi.
Ebigendererwa byabasse Gwaluka tebinategeerekeka.

Share.

Leave A Reply