Abawangudde mukolere abantu – Judith Nabakooba

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Minisita Judith Nabakooba avuddeyo nayozayoza abo bonna abawangudde akalulu okuli Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni wamu n’abalala ku bifo ebyenjawulo. Wabula alaze obwennyamivu mu bitundu ebimu eweyolekedde emivuyo mu kalulu gyagambye nti awamu basombye abaana abato okugenda okulonda wamu nabatali balonzi ba mubitundu ebyo nga bino babikoze okulemesa abantu, abantu bebaagala okuyitamu.
Minisita agamba nti mu bitundu ebimu wabaddeyo okutiisatiisa abalonzi era nasaba amateeka gakole naddala emivuyo gyegyabadde.
Asabye abalondeddwa naddala abali ku ludda oluvuganya Gavumenti okukolera abantu. Asabye abawanguddwa ku kifo ky’obwa Pulezidenti okukiriza omuntu abantu gwebalonze era nasaba aba NRM abawanguddwa okutuukirira Pulezidenti Museveni alabe bwayinza okubayamba abateeka mu Gavumenti.
Share.

Leave A Reply