Abavubuka ba Buganda Youth Council bavuddeyo ku bavubuka banaabwe ababuzibwawo

Mu lukungaana lwa bannamawulire lwebatuuzizza enkya ya leero e Mengo, abavubuka bano nga bakulembeddwamu Ssentebe waabwe Baker Ssejjengo, bagamba nti beeraliikirivu olwa bannaabwe ababuzibwawo abantu abatamanyikiddwa ate abamu nebazuulibwa nga battibwa.
Basabye ebitongole by’ebyokwerinda binnyonnyole ku bannaabwe abawambibwa era bwebaba balina omusango balamulwe mu bwenkanya mu mbuga z’amateeka.
Mu kaweefube ono battaddewo olukiiko lwa bannamateeka lunoonye bannaabwe abaawambibwa yonna gyebali basobole okufuna obwenkanya. Olukiiko lukulemberwa munnamateeka Namale Vivian nga amyukibwa Mwanje Ibrahim.
Kulw’Obwakabaka, olunaku lw’eggulo Katikkiro yavuddeyo naalaga obwennyamivu olw’ebikolwa by’okuwamba abantu nga bwebireeseewo obwelaliikirivu mu mitima gya bannayuganda era abo ababikola be balabe ba Gavumenti abasookera ddala kubanga ebikolwa bwebityo bikyayisa Gavumenti.

Add Your Comment