Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing · 310 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM

Abavubi e Mpigi balumye ejjiiko, baagala zaabwe

July 27, 2017 · Mubiru Ali

Abavubi ku  myalo ebiri egy’enjawulo ogwa Ssentongo ne Ggolo  egyaggaddwa ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’obuvubi n’ekitongole kya Lake Victoria Environment Protection Unit egiri mu  Disitulikiti y’e Mpigi ,  basabye baddizibwe ssente zaabwe eza layisinsi okuva mu Mpigi Disitulikiti kkanso.

Abavubi bano bagamba nti amaato gaabwe agawerako gaayonooneddwa n’obutimba ate nga babadde baakamala okusasula layisinsi eri wakati wa emitwalo musanvu ne kkumi mu buli lyato kyebagamba nti kyali kikyamu Gavumenti kukkiriza ensimbi zaabwe nga yali ekimanyi nti emirimu gyabwe gigenda kuyimirira. 

6