Abatuuze basaanyizaawo ebintu bya munaabwe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abatuuze abatannategeerekeka ku byalo bibiri okuli Lutanwa ne Mucwa mu ggombolola y’e Nakasenyi mu District y’e Ssembabule bavudde mu mbeera ne basaawa ensuku n’emmwanyi za mutuuze munnaabwe Dan Kisaakye nga bamulumiriza okuleeta ebyokoola ebitandise okubasuza ku tebuukye.
Ye Dan ayogerwako agamba nti abantu mu kitundu kino bamulinako empalana olwa ssente n’ebintu by’alina.
Ssentebe w’eggombolola eno Betty Twine avumiridde ekya abatuuze okusaawa ebirime n’abasaba babeere bakakkamu obudde bwonna bagenda kubayita batuuke ku nzikiriziganya okutereeza ekitundu.

Share.

Leave A Reply