Abantu abamu badduka mabanja nemuwoza nti babawambye – Ofwono Opondo

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo agamba nti; “Wadde wandibaawo abantu abawambibwa, naye waliwo abantu abamu abekwese obwekwesi okugeza abasajja abenzi badduse ku bakyala baabwe basobola okubeerako nowebbali, waliwo abamu ababa badduse amabanja nga abalala babeera babbye ku mirimu gyebakolera. Kino kireetera abantu baabwe okuddukira ku Uganda Police Force okwekubira enduulu nti abantu baabwe babuziddwawo.
Waliwo abantu abalala ab’emitima emibi abaagala okuzimba ebyobufuzi byaabwe bagenda mu malwaliro nebakuba abantu ebifaananyi nebabiteeka ku social media okulaga nti abawagizi baabwe batulugunyizibwa.”
Share.

Leave A Reply