Abantu 10 bebattiddwa e Mityana mu mwezi oguyise

Abantu abawerera ddala kkumi bebattiddwa mu bbanga lya mwezi gumu mu Disitulikiti y'e Mityana nga ku bano omukaaga abakazi, abasajja abasstu n'omwana wa mwaka gumu n'ekitundu.

Abantu abano abattiddwa babadde bakubwa bukubwa ngeri ya byuma era nga basangiddwa mu magombolola omuli ;  Myanzi, Bikers , Maanyi, Kikandwa ne ttawuni kkanso y'e Ssekanyonyi.

Omwogezi wa Police mu bitundu  bya Wamala, Nobert Ochom agamba nti abantu bano baabattira walala nebabaleeta okubasuula mu bitundu ebyo.

Ochom ayongerako nti abatemu bano  police enaatera okubagwa mu buufu wabula obutafaananako nga ebyali e Wakiso, abakazi abattiddwa tebasoose kusobezebwako . 
 

 

Leave a Reply