Abakungu okuva mu offiisi ya Ssaabaminisita bagiddwako emisango

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Director of Public Prosecutions awandiikidde Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi e Kololo nga agitegeeza nga bwebasazeewo okujja emisango ku bakozi ba Offiisi ya Ssaabaminisita 4 ababadde bagambibwa okuba nga bekobaana okunyaga ssente za Gavumenti bwebaali bagula emmere eoykuduukirira Bannayuganda mu kiseera ky’omuggalo ogwasooka.
Bano kuliko; Omuwandiisi ow’Enkalakkalira Christine Guwatudde Kintu, Accountant Joel Wanjala, Assistant Commissioner for Procurement Fred Lutimba ne Commissioner for Disaster Management Martin Owor babadde bavunaanibwa okuwa embalirira enjigirire ku kawunga n’ebijanjaalo.
Share.

Leave A Reply