Abakukusa amasimu bakwatiddwa mu Lwera

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ekitongole ekirwanyisa okukukusa ebintu okubiyingiza mu ggwanga kikutte emotoka nnamba UAM 863Q nga ebadde etisse ensawo z’emwanyi wabula nga zirimu amasimu.

Bano babakwatidde ku Check Point mu Lwera ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka mu kukebera basanzeemu amasimu g’ekika kya Itel 1,264 ne Charger za Smart phones 2,611. Emotoka yatwaliddwa ku kitebe kya URA e Nakawa.

Share.

Leave A Reply