ABAGAMBIBWA OKUGEZAAKO OKUTTA GEN. KATUMBA WAMALA POLIISI EBAKUTTE:

Pinterest LinkedIn Tumblr +
 
Omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Gen. Lokech agamba nti omusajja eyakuba amasasi agadda Muwala wa Gen. Katumba ne Muwala we akwatiddwa era nga ye Hussien Wahab Lubwama aka Master wabula yagezezaako okulwana nabamukwata nattibwa. Omulala yeyita Kanaabe nga yali avugibwa Walusimbi Kamada aka Mudinka ku booda booda. Eyakweka emmundu ye Kagugube Muhammad nga naye yakwatiddwa. Era bakutte omulala nga ye Amin nga ono kigambibwa nti ewuwe gyebakweka emmundu nga bagitwalira mu bokisi ya TV eya yinki 42 gyeyagibwa netwalibwa ewa Mukwasi nga esibiddwa mu byayi.
Kigambibwa nti bano bonna bali wansi wekibinja kyabatamanyangamba aba ADF.
Share.

Leave A Reply