Abagamba okubatulugunya baba baagala kugenda bweru – Brig. Kulayigye

Omwogezi w’eggye lya UPDF, UPDF Spokesperson Brig. Felix Kulayigye afulumizza ekiwandiiko ekiraga nti omuwagizi wa National Unity Platform – NUP Alexandria Marinos aka Esther omu ku bantu balumiriza okumutulugunya Elias Ssengoba bwali omuntu wabulijjo wabula nga mulirwana we so nga ne Ali Hassan bamanyiganye ebbanga.
Ekiwandiiko kiraga nti Ali Hassan yali omu ku bantu abamuggyako sitaatimenti mu 2020 ku Uganda Police Force y’e Kinawataka bweyakwatibwa ku bigambibwa nti yali alina ebintu by’amaggye byakukulidde nga bino byali bya muganzi we eyali owa LDU wabula nadduka. Wabula nti bwebakebera ewuwe nebatabisangayo bamuyimbula.
Kulayigye agamba nti balemeddwa okutegeera wa gyafunira ebiwundu bino kuba teri kifo kya CMI kimanyiddwa gyebaali bamulabyeeko ekibaleetera okulowooza oba yali ayagala kufunirako bubuddamu mu nsi z’ebweru.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply