Ababaka mu Palamenti baagala Minista Amongi alekulire

Abamu ku babaka mu Palamenti baagala Minisista avunaanyizibwa ku by’ettaka Betty Amongi alekulire ekifo kye olw’ebimuteeberezebwako nti yeeyambisa ekifo kye okunyaga ettaka lya Gavumenti wamu n’eryobwannannyini. 

Kino kizze oluvannyuma lwa Amongi okulabikako mu Kakiiko akanoonyereza ku mivuyo gy’ebyettaka akakulirwa omulamuzi Catherine Bamugemereirwe era nga kano kaatutte ennaku bbiri nnambirira nga kakunya Amongi ono ku ngeri ez’enjawulo zeyafunamu ebintu bya Gavumenti bg’akozesa kkampuni eya emanyiddwa nga AMOBET

John Baptist Nambeshe, omubaka mu Palamenti akiikirira Disitulikiti y’e Buduuda agamba nti kyennyamiza nnyo okuba nti Amongi eyava ku ludda oluvuganya Gavumenti eyaalibadde kalabaalaba wa Gavumenti mu nkola y’ebintu ate yakozesa ekifo kye okunyaga ettaka ly’eyaalibadde akuuma obukuumi

Nambeshe agamba enteekateeka zitandise ez’okukungaanya emikono okuva mu babaka bamukunkumule omukono mu kibya kubanga takyasaanira kuweereza ggwannga .

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Nalufenya aggaddwa