Ababaka bafunye ez’okwebuuza ku balonzi ku kkomo ly’emyaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abamu ku babaka mu Palamenti bamaze okufuna obukadde bw'esimbi za Yuganda abiri mu mwenda buli mubaka (29Million) okugenda okwebuuza ku balonzi ku nnongoosereza mu ssemateeka okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti.

Okwebuuza ku balonzi kugenda kutwala ennaku kkuminattaano zokka era nga ababaka bakutandika nkya nga 25 omwezi guno okutuusa nga 08 Museenene .

Bw'abadde ayogerako ne Bannamawulire ku Palamenti emisana gya leero omwogezi wa Palamenti Chris Obore agambye nti ssente zimaze okuteekebwa ku akaawunta z'ababaka ab'enjawulo mu bbanka era nga batandika okuziggyayo enkya .

 

 

 

Share.

Leave A Reply