Poliisi siyensalirawo wa gyendaga – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu avuddeyo ku mukutu gwa Facebook nategeeza nti: Nga ntudde webalindira ennyonyi mu Amsterdam, nsobodde okulaba Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayima n’abasirikale abalala nga balangirira nti bajja kukiriza Family yange yokka okunyaniyiza ku kisaawe Entebe nti era bajja kumperekera okutuuka ewange!!

Lwaki abasirikale ba Poliisi batuuka kussa lino ery’okunondera ani ankima ku kisaawe nawa gyendaga bwenva ku kisaawe?

Kati kambategeeze, teri wa Family yange n’omu ajja kunkima ku kisaawe, njakubasanga waka nga baninze. Njakwanirizibwa mikwano gyange, Babaka banange ne bayimbi banange.

Njakugendako e Najjanankumbi okulaba ku Jjaja wange omulwadde, bwenaava awo ngende e Kamwokya okulya eky’emisana ne baganda bange n’oluvannyuma ngende mu maka gange e Magere. Ndi Munnayuganda era nga nina eddembe okutambula nga bwenjagala. Poliisi si mulimu gwayo okumbuulira ani ankima, ani atalina kunkima negyesirina kugenda. Okunyigiriza kuno kulina okukoma.

Wamma tusisinkane enkya Mikwano ggyange.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa 
#MugirikoMugiriko

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa
#MugirikoMugiriko
...

0 0 instagram icon
Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n'abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi

Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n`abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi
...

3 0 instagram icon
Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers' Tournament.

Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers` Tournament. ...

62 3 instagram icon
Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute!

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute! ...

0 0 instagram icon