Breaking
News: Eggwanga lyabantu eritawena, omusajja yenna okuwasaayo omukazi alina kutwalayo musota singa gumulema okuwaayo omukazi aba amusubiddwa. News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi siyensalirawo wa gyendaga – Bobi Wine

September 19, 2018 · Mubiru Ali

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu avuddeyo ku mukutu gwa Facebook nategeeza nti: Nga ntudde webalindira ennyonyi mu Amsterdam, nsobodde okulaba Omwogezi wa Poliisi Emilian Kayima n’abasirikale abalala nga balangirira nti bajja kukiriza Family yange yokka okunyaniyiza ku kisaawe Entebe nti era bajja kumperekera okutuuka ewange!!

Lwaki abasirikale ba Poliisi batuuka kussa lino ery’okunondera ani ankima ku kisaawe nawa gyendaga bwenva ku kisaawe?

Kati kambategeeze, teri wa Family yange n’omu ajja kunkima ku kisaawe, njakubasanga waka nga baninze. Njakwanirizibwa mikwano gyange, Babaka banange ne bayimbi banange.

Njakugendako e Najjanankumbi okulaba ku Jjaja wange omulwadde, bwenaava awo ngende e Kamwokya okulya eky’emisana ne baganda bange n’oluvannyuma ngende mu maka gange e Magere. Ndi Munnayuganda era nga nina eddembe okutambula nga bwenjagala. Poliisi si mulimu gwayo okumbuulira ani ankima, ani atalina kunkima negyesirina kugenda. Okunyigiriza kuno kulina okukoma.

Wamma tusisinkane enkya Mikwano ggyange.