Tetujja kubabuulira ani yatuwa ssente – Amuriat

Pulezidenti wa Forum for Democratic Change Patrick Oboi Amuriat wamu ne Ssaabawandiisa Nathan Nandala – Mafabi mu lukiiko lwa Bannamawulire lwebatuuzizza bavuddeyo nebategeeza nga bwebategenda kwasanguza ani abateekamu ssente kuba ayinza okubeera mu Gavumenti, abasuubuzi oba abakozi ba Gavumenti. Tukikola kubakuuma omusibira mu bbwa aleme kubatuusaako buzibu.
Amuriat alumbye Besigye nategeeza nti ku bbo tewali yali abaddeko mu NRA kuba ye yali musawo wa Pulezidenti Museveni mu biseera by’olutalo.
Amuriat ategeezezza bammemba bonna aba FDC abayinza okuba n’obumulumulu bwonna ku bukulembeze n’engeri ekibiina gye kiddukanyizibwa okweyambisa offiisi ezenjawulo mu kibiina okugonjoola ensonga ezo.
Amuriat agamba nti ye ne Nandala si Bannabyabufuzi bakiseera buseera, babaddewo ebbanga lyonna nga balwanyisa nakyemmalira. Bano bagamba nti kiruma oli okuvaayo nagamba nti baalya mu FDC olukwe era baagala kugiguza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekitasoboka.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply