Ssebuufu owa Pine ne banne basaliddwa emyaka 40

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala, Flavia Angelin Ssenoga avuddeyo olunaku olwaleero nasalira Muhammad Ssebuufu, Godfrey Kayizzi, Phillip Mirambi, Yoweri Kitayimbwa, Damaseni Ssetongo, Paul Tasingika ne Shaban Odutu ekibonerezo kyakusibwa emyaka 40 lwakutta Donah, emyaka 20 lwakuwamba Donah wabula nga ebibonerezo byombi byakutambulira wamu saako n’okuliyirira obukadde 100 ab’Oluganda lwa Donah Betty Katushabe gwebatta olw’ebbanja lya bukadde 9 lwakubajjako omwagalwa waabwe 21 – October – 2015.

Omuwaabi wa Gavumenti Winfred Ahimbisibwe avuddeyo nategeeza kkooti nti abawawabirwa bonoonye obudde bwa kkooti bungi wamu n’ensimbi mu musango guno.

Katushabe yaggibwa mu maka ge ku ssaawa 3 ez’okumakya natwalibwa ku Pine mu Kampala gyeyatulugunyizibwa wamu n’okuswazibwa okutuusa ku ssaawa 11 ez’olweggulo bweyataasibwa nafiira mu kubo nga bamutwala mu ddwaliro.

Ahimbisibwe ategeezezza kkooti nti kino kyali kikolwa kibi nnyo kuba yali mukazi yekka mu mikono gy’abasajja abamutulugunya saako n’okuyuza engoye ze wamu n’akawale akomunda nebatuuka n’okulaga obwereere bwe eri abantu abaali bakungaanye okweyolela.

Ahimbisibwe era ategeezezza Kkooti nti ekikolwa ky’okutta Donah kyali kyetegekere bulungi kuba batuuka n’okuyiiya omusango ku Poliisi ya CPS, era bwebamukwata mu kifo ky’okumutwala ku Poliisi bamutwala ku Pine nebatandika okumutulugunya.

Wabula ye Munnamateeka Caleb Alaka ategeezezza Kkooti nti ekibonerezo ky’okuttibwa kinene nnyo okusinziira ku ye nga bwalaba nti okufa kwa Donah kwava ku biwundo ebitono ennyo byeyafuna.

Munnamateeka wa Ssebuufu Ochieng Evans ategeezezza nti Ssebuufu musajja mufumbo nga alina abaana 7, alina ekibanda ky’emotoka ekya Pine nga alina abakozi abasoba mu 300 bakozesa abagenda okufiirwa emirimu singa asibwa.

Ssebuufu bwaweereddwa omukisa okwogera ategeezezza omulamuzi nti alina bamulekwa 68, abaana beyajja ku nguudo wamu n’abantu abatalina mwasirizi bayamba.

Lwanga  Steven omuvuzi wa sipesulo gyebawambiramu Donah okuva mu maka ge okumutwala ku Pine asaliddwa emyaka 7 gyaba amala mu komera lwakuvuga motoka natwala Donah ku Pine.

Ssebuufu ne banne baali bawawabiddwa wamu n’omusirikale wa Poliisi eyali DPC wa Central Police Station mu Kampala Aaron Baguma wabula kuntandikwa yokuwozesebwa DPP nga tawadde Kkooti nsonga yonna yamujjako emisango egyali gimuvunaanibwa.

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa 
#MugirikoMugiriko

Sap Monday🔥🔥🔥 Yeffe Yeffe Abakola Ku Simba Wadde nga Nga tetubisaana 😂😂 Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kuba #Bakodomi Baffe .
#RadioSimba973
Sureman Ssegawa
#MugirikoMugiriko
...

0 0 instagram icon
Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n'abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi

Ibrahim Musana aka Pressure 247 tik -toker eyateekayo obutambi ngavuma Kabaka n`abakulu mu Gavumenti abalala ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 obwobuliwo oluvannyuma lwokuleeta ba Ssenga be 2 nga abamweyimiridde.
Musana agaaniddwa okuddamu okukozesa olulimi oluvuma nga bwatakikole okweyimirirwa kwe kwakusazibwamu.
Bya Christine Nabatanzi
...

3 0 instagram icon
Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers' Tournament.

Abawagizi ba National Unity Platform beyiye mu bungi ku nguudo okwaniriza Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bwabadde agenze ku mupiira gwekikopo kya NUP Foot-soldiers` Tournament. ...

62 3 instagram icon
Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute!

Dj Jet B olwaleero agenda kugubakuba paka ku makya! Omuziki oguliko bwegunayitirira mujja kuyita bute! ...

0 0 instagram icon