Sabiiti ayolekedde okulya obwa Ssentebe bwa FDC nga tavuganyiziddwa

Jack Sabiiti ayolekedde okulangirirwa kubwa Ssentebe bw’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC okudda mu bigere bya Amb. Wasswa Biriggwa oluvannyuma lw’okubulwa amuvuganya ku kifo kino.
Kino kiddiridde Biriggwa okuggyayo empapaula okuddamu okuvuganya ku kifo kino kyokka natazizzaayo ekiwadde Sabiiti omukisa okuyitawo nga tavuganyiziddwa. Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat ategeezezza nti ekisanja kya Sabiiti kyakumala emyaka 5 nga agenda kutandika emirimu gy’ekibiina nga 6 omwezi ogw’ekkumi. Ono ayongeddeko nti Biriggwa takyalina kifo kyonna mu bukulembeze bwa FDC era namusaba okumanya wakoma.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply