Abawagizi ba National Unity Platform olunaku lweggulo beyiye ku Kkooti y’Omulamuzi e Bushenyi, Registrar w’Ekibiina Pathy Mbabazi bweyabadde aleeteddwa mu Kkooti okuwulira omusango ogumuvunaanibwa ogwokusiga obukyaayi ku Pulezidenti Museveni ne mutabani we Gen. Muhoozi Kainerugaba. Mbabazi, 28, yakwatibwa Uganda Police Force mu Ishaka Division, mu Disitulikiti y’e Bushenyi nga 3 March, 2025 ngabadde ku alimanda mu Kkomera lya Nyamushekera Government Prison. Yayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti.
#ffemmwemmweffe
Registrar wa NUP e Bushenyi ateereddwa ku kakalu ka Kkooti
