Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Bannayuganda banange naddala Abazzukulu mbalamusizza.
🎵 Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni: “Bannayuganda banange naddala Abazzukulu mbalamusizza.
Nkizudde nti waliwo kerere egenda mu maaso ku Sovereignty Bill.
Olwali luno lukwata ku Sovereignty Bill ki? Ku gyenaleeta mu Lukiiko lwabaminisita oba waliyo endala?
Mbu Etteeka lyakulemesa FDI (Foreign Direct Investments), obuyambi eri Eddiini, Bannayuganda abali ebweru obuleeta wano nsimbi n’ebirala bingi. Ddala?! Eryo si ly’ebbago lyenateesaako.
Njogedde ne Hon. Hamson Obua ne ba Ssentebe b’obukiiko obukwatibwako mu Palamenti okulaba nti ebbago lino lisagala ku bwetengereze mu kukola okusalawo ku nsonga enkulu mu Ggwanga so ssi kuyingirira ssente zabantu zebasindika oba obuyambi obuweebwa Ekkanisa.”
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

