Breaking
News: Omusirikale wa Uganda Police Force ngakolera mu kitongole kya Flying Squad mu Albertine Regional Police Headquarters eyakwatibwa ku katambi nga News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya yo tegaana kutinta nokuyigiriza ne leero ekiro ku nnya lindirira Abakontanyi nendukusa zaabwe nga News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu!
ON NOW Emboozi Kafunda Live ▶ UP NEXT Olutindo 7:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 280 listening Simba FM Live
emboozi show photo

On Air

Emboozi Kafunda Live

Kalebule

6:00 PM - 7:00 PM 6:00 PM - 7:00 PM
News

Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ebadde etuula e Ggaba Alice Komuhangi Kaukha asingisizza Christopher Okello Onyum omusango gwokutta abaana 4 e Ggaba.

April 30, 2026 · Radio Simba

🚨 Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ebadde etuula e Ggaba Alice Komuhangi Kaukha asingisizza Christopher Okello Onyum omusango gwokutta abaana 4 e Ggaba.
Omulamuzi agaanye ekya Okello okweyita omulalu nategeeza nti ettemu lino lyeyakola yalyeteekerateekera bulungi nnyo era neebyo byonna ebyaddirira byoleka nti ategeera bulungi nnyo era neweyaddiza omusango nga 2-April-2026 yali ategeera.
Omulamuzi era ategeezezza nti mukwewozaako kwe Okello teyegaana musango gwakutta baana nti wabula teyakikola mu bugenderevu nti waliwo ebyali bimusindiikiriza okukola ekyo.
Omulamuzi Komuhangi ategeezezza nti ebikolwa bya Okello okwali; okufuna alipoota yokutegeera nga tanazza musango, okuggyayo ssente ku mobile money wamu n’okusasulira okweyazika emotoka nga akozesa bbanka wamu n’okusasulira ennyumba gyeyapangisa byoleka nti yali ategeera bulungi.
Omulamuzi era ategeezezza nti oluvannyuma lwa Okello okulemererwa okuleeta obujulizi okuva mu Ddwaliro oba ow’Olunganda lwe oba bazadde be okukikakasa nti alina ekizibu ku bwongo kyoleka

Radio Simba News