Pulezidenti Museveni asuubizza okuzimbira Omusinga olubiri

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agenda kuzimbira Omusinga wa Rwenzururu Charles Wesley Mumbere olubiri olupya oluvannyuma lw’olubiri lwe okwonoonebwa mu bulumbaganyi obwakolebwa ku Lubiri lw’Omusinga mu mwaka gwa 2016.
Omwandiisi ow’ekyama ow’Omusinga, David Bradford Nguru ategeezezza nti Pulezidenti yasuubiza n’okugulira omusinga wooteeri gaggadde, tulakita 3, emmotoka za buyonjo n’ebintu ebirala bino biyambeko ku Businga okufunamu ensimbi.
Bino byatuukiddwako mu nsisinkano wakati wa Pulezidenti n’Omusinga ku bbalaza ya wiiki eno mu maka g’Obwapulezidenti Entebe.
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply