Pulezidenti Museveni asonyiye abasibe 200

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asonyiye abasibe 200 nga mubano mwemuli Jimmy Rwamafwa, ngono yali muwandiisi omukulu mu Public Service eyasingisibwa omusango gwokuwuwutanya ensimbi.
Rwamafa yakwatibwa mu August 2015 lwakubulankanya ensimbi eziri eyo mu buwumbi 88 zeyali agamba nti yaziwaayo mu kittavvu ky’abakozi ekya NSSF Uganda nga zino zaali z’Abakozi ba Gavumenti beyali amanyi omulungi bano tebasalibwako ssente zino.
Nga 11-November-2016, Omulamuzi wa Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi Lawrence Gidudu yasalira Rwamafa ne banne omusango nabawa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 7 wamu nokukomyawo ensimbi obuwumbi 50 baziwe Gavumenti.
Nga 21-December-2018 Rwamafa bamwongera ekibonerezo ekirala kya myaka 9 ku bigambibwa nti yekobaana ne Munnamateeka kati omugenzi Bob Kasango okubba ensimbi obuwumbi 16 n’obukadde 400 ezaali ezokuliyirira abaaliko abakozi ba Gavumenti.
Share.

Leave A Reply