Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Poliisi yeyakwata Fortune – Patrick Onyango

Poliisi mu Kampala evuddeyo netegeeza nti yeyakutte omuwala Fortune Mugisha Ayebare amanyiddwa nga Fortune Lindah ku Social Media. Abantu ab’enjawulo babadde bavuddeyo nebategeeza nga ono bweyabuzibwawo ku lunaku olw’okubiri ekiro nga abamutwala bamusanga ku Shell e Kireka. Wabula bino Poliisi ebisambazze netegeeza nga ono bweyakwatibwa ku bigambibwa nti alina kyamanyi kukuwambibwa wamu n’okutibbwa kwa Mariam Nagiriinya wamu ne Ronald Kitayimbwa.

Fortune yakwatibwa abakuuma ddembe okuva Chieftaincy of Military Intelligence (CMI, Internal Security Organisation ne Criminal Investigations Directorate (CID) ku lw’okubiri ekiro. Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango yavuddeyo nakakasa nti ddala Ayebare Poliisi yemulina era nti bategezezza dda bazadde be. Kigambibwa nti Ayabera y’omu ku bantu abasembayo okulabibwa ne Nagiriinya.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort