Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana- Ebyenfuna bya Uganda byadobonkana dda! Emyaka 40 bayimba oluyimba lwe lumu! News: Bobi Wine erinnya lya Ssentamu lya lugero oluggwayo nti? Ku myaka 64 egyamefuga M7 afuzeeko emeka? News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya etinta era ekyatinta.
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 963 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
Sports

Poliisi yefuze omuzannyo gwa tayikondo mu mpaka z’ebitongole ebikuuma ddembe

September 26, 2022 · Mubiru Ali
#SimbaSportsUpdates;
Uganda Police Force yefuze omuzannyo gwa tayikondo ow’abakyala n’abaamu mu mpaka za Inter-forces Games 2022 eziyindira emu Mweya Peninsula, Kasese nga kati yakawangula emiddaali 16 nga kugino 6 gya zzaabu, 5 gya ffeeza ate 5 gya kikomo.
Mu mizannyo egyazanyiddwa nga 25-September ku Uganda Wildlife Research Institute e Katwe- Kabatooro town, mu kibinja ky’abasajja Poliisi yawangudde emiddaali gya zzaabu 3, ffeeza 1 negyekikomo 4 era nabavaayo nobuwanguzi bomutendera guno olwo nebefunira omuddaali gwa Zzaabu omulala.
Uganda Prisons Service -UPS yakutte kyakubiri olwo Uganda Wildlife Authority (UWA) nekwata kyakusatu ate UPDF kyakuna.
Bbo abakyala ba Poliisi bawangudde emiddaali 3 egya zzaabu, 4 egya ffeeza n’ogumu ogwekikomo nebaddirirwa UPDF n’emiddaali 7, Prisons mu kyokusatu n’emiddaali 5 olwao abategesi aba UWA nebakoobera n’emiddaali 5.