Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 376 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM

Poliisi ezudde omwana eyabibbwa e Masaka

June 21, 2019 · Mubiru Ali

Kyadaaki Poliisi mu Disiktulikiti y’e Masaka ezudde omwana Grace Nayiga 1, eyali yabbibwa okuva ku bazadde be mu Mukudde zooni mu Divizoni y’e Nyendo Ssenyange mu Disitulikiti y’e Masaka.
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Masaka Paul Kangave akakasiza okukwattibwa kw’abantu babiri bagaanyi okwatuukiriza amannya. Kangave agamba nti agambibwa okubba omwana eyategeerekeseeko erya Martin yadduka nga nabuli kati bamunoonya.
Ye kitaawe w’omwana anyonyodde nti omwana we yabibbwa omwetissi w’amatooke nga yamutwala amulimbalimba okumugulira swiiti.
Kigambibwa nti ono akyanoonyezebwa abadde asaba bazadde b’omwana ono obukadde 3 okumubaddizza. Omwana ono yagiddwa ku kyalo Bukyulo gyabadde yakwekebwa mu kazigo.