Aba booda booda mu Kampala enkya yaleero bakedde kukaalakaala n’omulambo gwa munnaabwe agambibwa okuba nga atomeddwa loole ya Homeklin Services. Kigambibwa nti loole eno emotomedde agezaako kudduka ku basirikale ba
Uganda Police Force wamu nabakwasisa amateeka okuva mu kitongole kya
Kampala Capital City Authority – KCCA ababadde bamugoba.
Poliisi yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula aba booda booda ababadde bazibye ebitaala by’oluguudo lwa Jinja Road nga bekalakaasa.
Abasirikale Uganda Police Force bezoobye nabagoba ba Booda booda ababadde bekalakaasa olwa munaabwe atomeddwa loole nafiirawo bwabadde agezaako okudduka ku basirikale ba Poliisi wamu nabakwasisa amateeka aba Kampala Capital City Authority – KCCA ababadde bamugoba. Poliisi ebakubyeemu omukka ogubalagala n’abalala nebayoola.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.